Amasiga
agali mu Bekkobe
Ekika ky'Abekkobe kirimu amasiga ag'ennono mwenda era ge
gano wammanga:
1.
Namukangula e Bbongole, Mawokota
2. Lwabiriza e Katoolingo, Busiro
3. Kawuma e Wassozi, Mawokota
4. Kakinda e Jjalamba, Mawokota
5. Kabengwa e Bulumbu, Busiro
6. Kaseenya e Buseenya, Butambala
7. Wanda e Misindye, Mawokota
8. Busuulwa e Nkozi, Mawokota
9. Kayiwa e Buyiwa, Mawokota.
Olunyiriri
lw'Akasolya (oluusi luyitibwa "olulangira")
Waliwo n'olunyiriri lw'akasolya mu kika ky'Abekkobe olukulemberwa
Omutaka Kyana e Ttiribogo luno nga lusibuka Buzimwa mu Mawokota.
Luno lwe luvaamu abalya Obwannamwama. Olunyiriri luno (lyandibadde
ssiga mu ngeri ya bulijjo) lwe luyitibwa olw'abalangira mu
Bekkobe era lwo lwetuukira butereevu ku Namwama omukulu w'ekika.
Lulimu emituba "emirangira" gino wammanga:
1.
Bukaba e Kawaala
2. Kavavagalo e Kayabwe, Mawokota
3. Kiragga e Katuuso, Mawokota
4. Kitemagwa e Magala, Mawokota
5. Magajja e Magala, Mawokota
6. Muwakanya e Magala, Mawokota
7. Nabbumba e Magala, Mawokota
8. Nakatanza e Vvumba, Mawokota
9. Nalugunju e Teketwe, Mawokota.
10. Namateeka e Nkana Magya, Mawokota
11. Nankolazzibi e Kiwumu, Busiro
12. Nkweyambye e Mbizzinnya, Mawokota
13. Ntaate e Kiboga
14. Ssebitere e Maggya, Mawokota
15. Ssebuliba e Lubanja, Singo
16. Ssekkonge e Butamba, Mawokota
17. Ssemombwe e Kisaliza, Busujju
|