Ekyavaako okweddira Ekkobe
Mu binyumizibwa n'ebiwandiikiddwa kigambibwa nti, Olwali olwo jjajjafe Nsereko Kalamazi ne yegatta ku Ssekabaka Kintu batabaale Bemba, bajja batambula okuva e Buvanjuba bwa Uganda mu kitundu ekyali kiyitibwa "Ggwe" mu kiseera kino ye Samia Bugwe, baabo mu Bugisu gye yasanga omuwala gwe yegomba n'ayagala amuwase. Ekiseera kyatuuka jjajjafe Nsereko ne banne ne bagenda okweyanjula ku buko. Baba batudde ku maliba nga babagabula ebittafuttafu wansi w'omuti, ekkobe ne liva waggulu ne limukuba mu kiwalaata n'awanamira ku lujjuliro n'ayisibwa bubi nnyo anti lyamuleetera okuswala! Bwatyo kwe kugamba nti, okuva leero abaana bange n'abazzukulu tewabanga alya ekkobe. N'okuva olwo, ekkobe nerizirwa era ne rifuuka Omuziro.

Kigambibwa nti, omuwala gwe yali ayogereza yali ayitibwa Namboozo oluvannyuma eyafuuka Nambooze. Namboozo bwe yazaala omwana omulenzi, Nsereko n'amutuuma Male ekitegeeza nti, "amakobe tugamale okugalya." Omwana owookubiri n'amutuuma Busuulwa nti, "amakobe tugasuule." Ate owookusatu yatuumibwa Ssebuliba, nga yejjukanya amaliba kweyali atudde ekkobe limale limukube. Omwana omulala yamutuuma Nambooze okumubbula mu mukazi Namboozo gwe yali agenze okwogereza.

Jjajjafe ono Nsereko nga bali ne Kabaka Kintu oluvannyuma lw'okutta Kabaka Bemba Musota eyali aliisa Abaganda akakanja, yasooka kusenga ku mutala gwe bayita Kanyanya mu Busujju okuliraana Magonga. Oluvanyuma yasaba mukama we Kintu n'amuwa ku mutala Buzimwa okwali baganda be Gubiri, Kakulukuku ne Nalugunju abaali bafugibwa Omunyolo Kasamu Nayiko gwe yagobako. Eyo y'emu kunsonga eyamusabya omutala Buzimwa oluvannyuma kwe yasinziira okulumba era n'atabaala Abanyolo abalala abaali mu bitundu ebiriraanye Teketwe kati Buwama mu Mawokota.

Kigambibwa nti, Nsereko yali mujagujagu mu kkubo lyabwe nga badda okuva e Buvanjuba nga bayitidde e Ssese, era nti ku Ssekabaka Kintu ye yasookanga okuddamu buli kintu ekyabuuzibwanga. Noolw'ekyo ekigambo mu Lussese "KWAMA" ekitegeeza okusooka oba kwaniriza kyamubatizibwa, bwatyo Nsereko olw'obwangu bwe yalina mu buli kintu ne bamuyita "Namuyama" oluvannyuma n'afuuka Namwama. Nsereko ono era yaweebwa omulimo gw'okunonanga ku Lubaale Mukasa e Ssese. Kabaka yamubuuzanga nti omugenyi wamuyama? Nti yee Ssebo, "omugenyi namuyama (namwaniriza)." Era Namuyama - Namwama kwe kwava n'erinnya ly'ekifo Buwama awali embuga y'Abekkobe.

Okuzaala kwa Nsereko
Jjajjafe yazaala abaana bangi okusukka mu kkumi, era mubo abaamanyika ennyo bebano:

1. Namukangula ono yali muyizzi kkungwa ku Ssekabaka Kintu. Bwebayigganga embogo nga yazigobera ku kizigo. Ono naye yajja ku Buzimwa, kyokka ye teyazaala era bweyafa mugandawe Nankule kwe kumusikira.
2. Lwabiriza oyo ye yali Kawuuta wa Ssekabaka Kintu era ye yasigala Magonga ono ye yazaala Lwabiriza eyagenda n'omulangira Kalemeera e Bunyoro. Oluvanyuma Kabaka Kintu yamuwa ettaka e Katoolingo mu Busiro era n'aweebwa omulimo ogw'okubanga entaana z'abalangira awamu n'okuwekula akaba ku njole ya Ssekabaka.
3. Mabingo Magere ono ye yabajjanga olunyago lwa Ssekabaka Kintu omwawangwanga effumu Kintu lye yafumisanga empeewo okwavanga eddiba eryakolwangamu enkanamo ya Ssekabaka Kintu e Magonga. Bwatyo n'afuuka muwanzi w'amafumu ga Kabaka Kintu e Nnono Magonga oyo ye teyavaayo.
4. Kiragga ono jjajjafe Nsereko gwe yafuula Kitaawe ne mwanyina Nabwami n'abamenyerako "OLUKANDA" ng'amaze okuzaala abalongo "Kayongo ne Male" abakuumibwa Omutaka KYANA e Ttiribogo Mawokota jjajja w'ekika era omukulu w'olunyiriri lw'Akasolya omuva ba Namwama.
5. Sikyemanywa Ssekkonge ono yeyasikira jjajjafe Nsereko Namwama.
6. Walubandwa - Kabengwa n'ono yali muyizzi nnyo naye yajja ku Buzimwa n'abalala era kwe yafiira.
7. Nakanyakaali ono ye yazaala Kakinda e Jalamba, ne Mukooge e Ggolo, Mawokota.
8. Kayiwa
9. Busuulwa
10. Bukulu n'abalala.

Bwe kityo Buzimwa kyafuuka obutaka obukulu obw'Abekkobe obusangibwa mu Ggombolola ya Ssaabagabo Muduuma ku Luguudo lwe Mityana Mailo 22 okuva e Kampala. Eyo Bannamwama abasinga obungi gye baazikibwa ne bazzukulu babwe.

Embuga enkulu eya Namwama eri Buwama mu Ggombolola ya Musaale ku Luguudo lw'e Masaka. Era eyo jjajjafe Nsereko Kalamazi Namwama omubereberye tutegeezebwa nti gye yabulira mu lusozi Teketwe.

Jjajjafe ono yalina effumu lye eritaamuva nga mu ngalo lye yalwanyisanga nga liyitibwa "MAZINA GANDIGITA". Jjjajjafe Nsereko ng'ali ku Buzimwa yalwanirako entalo nnyingi nnyo, era n'alumba n'Abanyoro abaalinga ku mitala Teketwe, Kayenje, Misindye awamu ne Kyabadaaza ng'agaziya Buganda.

Olutalo olwasembayo yalwanyisa ennyiriri bbiri, olumu ye mwene mwe yali lwayita Kayenje ne Misindye. Yagendanga akuba engoma nga evuga nti "Tagobwa". Ate olunyiriri olulala lwayita Kyabadaaza, luno lwe lwakulemberwa omwana we Kabengwa. Kabegwa olw'okuba yayagalanga nnyo embwa, ye yali akyusiza ku ngoma ya kitaawe eyiye kye yavanga evuga nti "Embwa ekooye, gireete erye eggumba. Ye omukazi leka eyo." Olwo nno omubala gw'Abekkobe nga gugenda gukula.

Nsereko ng'amaze okugoba Abanyolo ku Teketwe (Buwama), ate nga talina kisulo kiri kumpi na nnyanja kye yava asaba mukama we Kintu afune w'ayinza okuvanga amangu okukwata eryato okunonanga ku Lubaale Mukasa e Ssese. Awo kwe kwejjulura n'ava e Buzimwa n'asenga e Teketwe.

Abazira ab'edda mu kika ky'Abekkobe
Bano be bamu ku basajja enjasabiggu Abekkobe ab'edda, abajjukirwa olw'ebyo bye bakola:

1. Asooka ye Jjajjaffe Nsereko Kalamazi yennyini, yali musajja nkwata ngabo, mu kulwanyisa Bemba Musota awamu nokugoba Abanyolo mumasaza Mawokota ne Butambala. Era ye yatandikawo ekika Kyekkobe.
2. Omuzira Kyewalabye e Kabyuma Buwekula
Kyewalabye ajjukirwa ku linnya Luwekula ow'essaza afuga Buwekula. Erinnya Luwekula lyava ku muzira Kyewalabye Owekkobe eyalwana n'awangula ekitundu ky'e Buwekula okuva ku Bunyoro ku Ssekabaka Kamaanya. Era nga y'omu kwabo Ssekabaka Kamaanya be yafuga nabo Obuganda.

Yatiibwanga nnyo Abanyolo, era abakazi batyanga n'okugya abaana babwe ku mabega buli lwe bawuliranga nti, Kyewalabye wuuyo nga badduka. Bwe baatukanga awekusifu nga bagamba bannaabwe nti "muwekule" abaana bayonkeko. Okwo kwe basinziira okumutuuma erinya Luwekula. Yaliwo ku Ssekabaka Kamaanya e Kasengejje. Mu kusooka yafugako ku Bwassaabawaali wa Mukwenda ow'Essaza lya Ssingo nga tanafuuka Luweekula.

Lumu yalwana n'Abanyolo n,akoowa n'alagira abakazi nti, mutulabula ng'abalabe bazze naye eby'embi abakazi otulo twabatwala, era teziba mbwa ze kubalabula, n'aduumira bassajja be ne babagoba baali babasse! Bwebamubuuza nti abakazi tubanone? Yaddamu nti, "abakazi leka eyo kasita embwa zange nzitutte." Waaliwo omusajja omutaka Kyewalabye gwe yagoba ku mutala Kabyuma. Ono yali muweesi, nga ye "LUKUBABYUMA". Era ku mutala okwo kwaliko "AMATALE" Omutaka eyagobwa geyafukutangamu ebyuma. Okwo kwe kwava omutala ogwo okuyitibwa "KABYUMA."

Omuzira Ssebuliba e Buddo
Ssebuliba yalya "Obwamakamba" e Buddo, yali musajja njasabiggu. Ssekabaka Ssemakookiro bwe yali ategeka okulumba Mugandawe Jjunju emmandwa n'emugamba nti, laba musajjawo omuzira bamwokere mu nju, naye bw'enesirikka nga tafiiriddeemu, nga Jjunju ajja kuwangulwa. Ssemakookiro kwe kugamba Ssebuliba akikole naye teyalwa n'akkiriza. Yasumikibwa embugo bbiri n'akwata n'amafumu abiri n'engabo nga n'embwa ye emuli ku lusegere kyokka abakyala nga badduse. Ennyumba egenda okusirikka nga Ssebuliba mulamu yesimbye nga lukoma.

Era embwa yayongera okuganja olw'obutaabulira mukama waayo. Ssemakokiro kwe kuwa Ssebuliba obwami Obwamakamba e Buddo.

Omuzira Mutumba
Omuzira Mutumba eyali Mukwenda ku Ssekabaka Kyabaggu yalwanyisa Abanyolo n'abagoba ku mutala Lubanja mu Ssingo. Era Mutumba ye yagobayo Omunyolo Omutaka gwe baayitanga NAMUNKULULU. Awo Mutumba kwe kusaba Namwama amuwe omuntu akuumeyo, ye kwe kumuwa omwanawe Ssebuliba akuumengayo. Ssebuliba naye bwe yatuukayo yakola kye kimu n'alwanyisa ensigalira z'Abanyolo ezaali zisigaddeyo.

Kigambibwa nti Ssebuliba aba akomawo kwe kusitama n'akunkumula omusulo mu kawonvu, gye gwalaga ne wafuuka akagga ne katuumibwa Ssebuliba. Akagga ako kasangibwa Lubanja mu Ssingo. Awo Namwama kwe kusimbira Ssebuliba oyo, omutuba ku Lubanja.

Abakyala b'Ekkobe abaayitimuka mwemuli Namale Nkomommo eyayimbira ennyo Ssekabaka Edward Muteesa II, waliwo ne Hadija Namale ne Maliyamu Namale n'abalala.

 

Main Home |Luganda Home | English Home