EKIKA KY'ABEKKOBE MU BUGANDA

Ekika ky'Ekkobe kimu kubika bya Buganda attaano mu mukaaga ng'ogasseko bina ebyalangirwa mu 2005 - eky'Emmamba, Kakoboza, Mutima omusagi, Ngabi ennyunga n'Enkusu ebiri mu Buganda ( www.buganda.com ). Ebika ataano byokka by'ebyakakasibwa Mengo.

Nga tetuneyongerayo, osaana okujjukiranga nti Omutaka Owaakasolya ye mukulembeze ow'oku ntikko ayunga ekika kyo ku Ssaabasajja Kabaka (ku Bwakabaka bwa Buganda). Okuva ku mutaka wakasolya okutuuka ku muntu kinoomu tulina okuba n'Essiga, Omutuba, Olunyiriri, Oluggya, Enju (gwe omuntu omu mwova).

Ekkobe mmere ebala ku kimera ekyerandiza kyokka ku kitooke oba ku muti era edda yayambanga nnyo mu njala anti eyinza n'okumala emyezi omukaaga oluvannyuma lw'okukukungulwa nga teyononese. Ekkobe lirimu ebika bibiri; waliwo eddene eriyitibwa Nakatudde n'akatono akayitibwa Nakakaawa. Abagalya bagamba nti Nakakaawa likaawa ng'erinnya lyalyo. Naye nga mu kweddira tewali njawulo nti nze neddira Nakatudde oba Nakakaawa.

Okwebaza

Twebaza abantu bangi nnyo nnyo abatusobozesezza okukola omulimu guno. Mubangi tunokoddeyo Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, Omutaka Kyana James Magala Muteweta n'omuzukkulu Dr. Victor Nsereko Wantaate bebazibwa kyansusso.

 

Bwoba olina ky'obuuza oba okwongerako biyise mu kkobeweb@yahoo.com

 

Main Home |Luganda Home | English Home