Ekyavaako
okweddira Ekkobe
Mu binyumizibwa n'ebiwandiikiddwa kigambibwa nti, Olwali olwo
jjajjafe Nsereko Kalamazi ne yegatta ku Ssekabaka Kintu batabaale
Bemba, bajja batambula okuva e Buvanjuba bwa Uganda mu kitundu
ekyali kiyitibwa "Ggwe" mu kiseera kino ye Samia
Bugwe, baabo mu Bugisu gye yasanga omuwala gwe yegomba n'ayagala
amuwase. Ekiseera kyatuuka jjajjafe Nsereko ne banne ne bagenda
okweyanjula ku buko. Baba batudde ku maliba nga babagabula
ebittafuttafu wansi w'omuti, ekkobe ne liva waggulu ne limukuba
mu kiwalaata n'awanamira ku lujjuliro n'ayisibwa bubi nnyo
anti lyamuleetera okuswala! Bwatyo kwe kugamba nti, okuva
leero abaana bange n'abazzukulu tewabanga alya ekkobe. N'okuva
olwo, ekkobe nerizirwa era ne rifuuka Omuziro.
Kigambibwa
nti, omuwala gwe yali ayogereza yali ayitibwa Namboozo oluvannyuma
eyafuuka Nambooze. Namboozo bwe yazaala omwana omulenzi, Nsereko
n'amutuuma Male ekitegeeza nti, "amakobe tugamale okugalya."
Omwana owookubiri n'amutuuma Busuulwa nti, "amakobe tugasuule."
Ate owookusatu yatuumibwa Ssebuliba, nga yejjukanya amaliba
kweyali atudde ekkobe limale limukube. Omwana omulala yamutuuma
Nambooze okumubbula mu mukazi Namboozo gwe yali agenze okwogereza.
Jjajjafe
ono Nsereko nga bali ne Kabaka Kintu oluvannyuma lw'okutta
Kabaka Bemba Musota eyali aliisa Abaganda akakanja, yasooka
kusenga ku mutala gwe bayita Kanyanya mu Busujju okuliraana
Magonga. Oluvanyuma yasaba mukama we Kintu n'amuwa ku mutala
Buzimwa okwali baganda be Gubiri, Kakulukuku ne Nalugunju
abaali bafugibwa Omunyolo Kasamu Nayiko gwe yagobako. Eyo
y'emu kunsonga eyamusabya omutala Buzimwa oluvannyuma kwe
yasinziira okulumba era n'atabaala Abanyolo abalala abaali
mu bitundu ebiriraanye Teketwe kati Buwama mu Mawokota.
Kigambibwa
nti, Nsereko yali mujagujagu mu kkubo lyabwe nga badda okuva
e Buvanjuba nga bayitidde e Ssese, era nti ku Ssekabaka Kintu
ye yasookanga okuddamu buli kintu ekyabuuzibwanga. Noolw'ekyo
ekigambo mu Lussese "KWAMA" ekitegeeza okusooka
oba kwaniriza kyamubatizibwa, bwatyo Nsereko olw'obwangu bwe
yalina mu buli kintu ne bamuyita "Namuyama" oluvannyuma
n'afuuka Namwama. Nsereko ono era yaweebwa omulimo gw'okunonanga
ku Lubaale Mukasa e Ssese. Kabaka yamubuuzanga nti omugenyi
wamuyama? Nti yee Ssebo, "omugenyi namuyama (namwaniriza)."
Era Namuyama - Namwama kwe kwava n'erinnya ly'ekifo Buwama
awali embuga y'Abekkobe.
Okuzaala
kwa Nsereko
Jjajjafe yazaala abaana bangi okusukka mu kkumi, era mubo
abaamanyika ennyo bebano:
1. Namukangula
ono yali muyizzi kkungwa ku Ssekabaka Kintu. Bwebayigganga
embogo nga yazigobera ku kizigo. Ono naye yajja ku Buzimwa,
kyokka ye teyazaala era bweyafa mugandawe Nankule kwe kumusikira.
2. Lwabiriza oyo ye yali Kawuuta wa Ssekabaka Kintu era ye
yasigala Magonga ono ye yazaala Lwabiriza eyagenda n'omulangira
Kalemeera e Bunyoro. Oluvanyuma Kabaka Kintu yamuwa ettaka
e Katoolingo mu Busiro era n'aweebwa omulimo ogw'okubanga
entaana z'abalangira awamu n'okuwekula akaba ku njole ya Ssekabaka.
3. Mabingo Magere ono ye yabajjanga olunyago lwa Ssekabaka
Kintu omwawangwanga effumu Kintu lye yafumisanga empeewo okwavanga
eddiba eryakolwangamu enkanamo ya Ssekabaka Kintu e Magonga.
Bwatyo n'afuuka muwanzi w'amafumu ga Kabaka Kintu e Nnono
Magonga oyo ye teyavaayo.
4. Kiragga ono jjajjafe Nsereko gwe yafuula Kitaawe ne mwanyina
Nabwami n'abamenyerako "OLUKANDA" ng'amaze okuzaala
abalongo "Kayongo ne Male" abakuumibwa Omutaka KYANA
e Ttiribogo Mawokota jjajja w'ekika era omukulu w'olunyiriri
lw'Akasolya omuva ba Namwama.
5. Sikyemanywa Ssekkonge ono yeyasikira jjajjafe Nsereko Namwama.
6. Walubandwa - Kabengwa n'ono yali muyizzi nnyo naye yajja
ku Buzimwa n'abalala era kwe yafiira.
7. Nakanyakaali ono ye yazaala Kakinda e Jalamba, ne Mukooge
e Ggolo, Mawokota.
8. Kayiwa
9. Busuulwa
10. Bukulu n'abalala.
Bwe kityo
Buzimwa kyafuuka obutaka obukulu obw'Abekkobe obusangibwa
mu Ggombolola ya Ssaabagabo Muduuma ku Luguudo lwe Mityana
Mailo 22 okuva e Kampala. Eyo Bannamwama abasinga obungi gye
baazikibwa ne bazzukulu babwe.
Embuga
enkulu eya Namwama eri Buwama mu Ggombolola ya Musaale ku
Luguudo lw'e Masaka. Era eyo jjajjafe Nsereko Kalamazi Namwama
omubereberye tutegeezebwa nti gye yabulira mu lusozi Teketwe.
Jjajjafe
ono yalina effumu lye eritaamuva nga mu ngalo lye yalwanyisanga
nga liyitibwa "MAZINA GANDIGITA". Jjjajjafe Nsereko
ng'ali ku Buzimwa yalwanirako entalo nnyingi nnyo, era n'alumba
n'Abanyoro abaalinga ku mitala Teketwe, Kayenje, Misindye
awamu ne Kyabadaaza ng'agaziya Buganda.
Olutalo
olwasembayo yalwanyisa ennyiriri bbiri, olumu ye mwene mwe
yali lwayita Kayenje ne Misindye. Yagendanga akuba engoma
nga evuga nti "Tagobwa". Ate olunyiriri olulala
lwayita Kyabadaaza, luno lwe lwakulemberwa omwana we Kabengwa.
Kabegwa olw'okuba yayagalanga nnyo embwa, ye yali akyusiza
ku ngoma ya kitaawe eyiye kye yavanga evuga nti "Embwa
ekooye, gireete erye eggumba. Ye omukazi leka eyo." Olwo
nno omubala gw'Abekkobe nga gugenda gukula.
Nsereko
ng'amaze okugoba Abanyolo ku Teketwe (Buwama), ate nga talina
kisulo kiri kumpi na nnyanja kye yava asaba mukama we Kintu
afune w'ayinza okuvanga amangu okukwata eryato okunonanga
ku Lubaale Mukasa e Ssese. Awo kwe kwejjulura n'ava e Buzimwa
n'asenga e Teketwe.
Abazira
ab'edda mu kika ky'Abekkobe
Bano be bamu ku basajja enjasabiggu Abekkobe ab'edda, abajjukirwa
olw'ebyo bye bakola:
1. Asooka
ye Jjajjaffe Nsereko Kalamazi yennyini, yali musajja nkwata
ngabo, mu kulwanyisa Bemba Musota awamu nokugoba Abanyolo
mumasaza Mawokota ne Butambala. Era ye yatandikawo ekika Kyekkobe.
2. Omuzira Kyewalabye e Kabyuma Buwekula
Kyewalabye ajjukirwa ku linnya Luwekula ow'essaza afuga Buwekula.
Erinnya Luwekula lyava ku muzira Kyewalabye Owekkobe eyalwana
n'awangula ekitundu ky'e Buwekula okuva ku Bunyoro ku Ssekabaka
Kamaanya. Era nga y'omu kwabo Ssekabaka Kamaanya be yafuga
nabo Obuganda.
Yatiibwanga
nnyo Abanyolo, era abakazi batyanga n'okugya abaana babwe
ku mabega buli lwe bawuliranga nti, Kyewalabye wuuyo nga badduka.
Bwe baatukanga awekusifu nga bagamba bannaabwe nti "muwekule"
abaana bayonkeko. Okwo kwe basinziira okumutuuma erinya Luwekula.
Yaliwo ku Ssekabaka Kamaanya e Kasengejje. Mu kusooka yafugako
ku Bwassaabawaali wa Mukwenda ow'Essaza lya Ssingo nga tanafuuka
Luweekula.
Lumu yalwana
n'Abanyolo n,akoowa n'alagira abakazi nti, mutulabula ng'abalabe
bazze naye eby'embi abakazi otulo twabatwala, era teziba mbwa
ze kubalabula, n'aduumira bassajja be ne babagoba baali babasse!
Bwebamubuuza nti abakazi tubanone? Yaddamu nti, "abakazi
leka eyo kasita embwa zange nzitutte." Waaliwo omusajja
omutaka Kyewalabye gwe yagoba ku mutala Kabyuma. Ono yali
muweesi, nga ye "LUKUBABYUMA". Era ku mutala okwo
kwaliko "AMATALE" Omutaka eyagobwa geyafukutangamu
ebyuma. Okwo kwe kwava omutala ogwo okuyitibwa "KABYUMA."
Omuzira
Ssebuliba e Buddo
Ssebuliba yalya "Obwamakamba" e Buddo, yali musajja
njasabiggu. Ssekabaka Ssemakookiro bwe yali ategeka okulumba
Mugandawe Jjunju emmandwa n'emugamba nti, laba musajjawo omuzira
bamwokere mu nju, naye bw'enesirikka nga tafiiriddeemu, nga
Jjunju ajja kuwangulwa. Ssemakookiro kwe kugamba Ssebuliba
akikole naye teyalwa n'akkiriza. Yasumikibwa embugo bbiri
n'akwata n'amafumu abiri n'engabo nga n'embwa ye emuli ku
lusegere kyokka abakyala nga badduse. Ennyumba egenda okusirikka
nga Ssebuliba mulamu yesimbye nga lukoma.
Era embwa
yayongera okuganja olw'obutaabulira mukama waayo. Ssemakokiro
kwe kuwa Ssebuliba obwami Obwamakamba e Buddo.
Omuzira
Mutumba
Omuzira Mutumba eyali Mukwenda ku Ssekabaka Kyabaggu yalwanyisa
Abanyolo n'abagoba ku mutala Lubanja mu Ssingo. Era Mutumba
ye yagobayo Omunyolo Omutaka gwe baayitanga NAMUNKULULU. Awo
Mutumba kwe kusaba Namwama amuwe omuntu akuumeyo, ye kwe kumuwa
omwanawe Ssebuliba akuumengayo. Ssebuliba naye bwe yatuukayo
yakola kye kimu n'alwanyisa ensigalira z'Abanyolo ezaali zisigaddeyo.
Kigambibwa
nti Ssebuliba aba akomawo kwe kusitama n'akunkumula omusulo
mu kawonvu, gye gwalaga ne wafuuka akagga ne katuumibwa Ssebuliba.
Akagga ako kasangibwa Lubanja mu Ssingo. Awo Namwama kwe kusimbira
Ssebuliba oyo, omutuba ku Lubanja.
Abakyala
b'Ekkobe abaayitimuka mwemuli Namale Nkomommo eyayimbira ennyo
Ssekabaka Edward Muteesa II, waliwo ne Hadija Namale ne Maliyamu
Namale n'abalala.
|