Egimu
kumirimo Abekkobe gye bakola mu Bwakabaka
1.
Namwama yeyagobereranga Lubaale Mukasa e Ssese.
2.
Ow'essiga Lwabiriza e Katoolingo y'abanga entaana z'abalangira
era ye yaggyanga akaba ku njole ya Ssekabaka.
3.
Abekkobe bebawanga amafumu ga Kabaka mu nnyago era bayitibwa
bawanzi.
4. Wanda y'afuuyira Kabaka ekkondeere eriyitibwa Mwokoola
alifuuyira wamu ne Makanga Oweemmamba nga ye afuuwa
erirye eriyitibwa Kawunde.
5.
Ow'essiga Kakinda, y'akinda olubugo olusumikibwa Omulangira
ng'alya Obuganda (Obwakabaka).
6. Abekkobe bebamu kubayizzi ba Kabaka okuyita muw'Essiga
Namukangula.
7. Omutaka Kutulako yaggulira Omulangira ekkubo e Kasenge
nga agenda e Naggalabi okitikkirwa.
|