EKIKA
KY'ABEKKOBE MU BUGANDA
Ekika
ky'Ekkobe kimu kubika bya Buganda attaano mu mukaaga ng'ogasseko
bina ebyalangirwa mu 2005 - eky'Emmamba, Kakoboza, Mutima
omusagi, Ngabi ennyunga n'Enkusu ebiri mu Buganda (
www.buganda.com ).
Ebika ataano byokka by'ebyakakasibwa Mengo.
Nga
tetuneyongerayo, osaana okujjukiranga nti Omutaka Owaakasolya
ye mukulembeze ow'oku ntikko ayunga ekika kyo ku Ssaabasajja
Kabaka (ku Bwakabaka bwa Buganda). Okuva ku mutaka wakasolya
okutuuka ku muntu kinoomu tulina okuba n'Essiga, Omutuba,
Olunyiriri, Oluggya, Enju (gwe omuntu omu mwova).
Ekkobe
mmere ebala ku kimera ekyerandiza kyokka ku kitooke oba ku
muti era edda yayambanga nnyo mu njala anti eyinza n'okumala
emyezi omukaaga oluvannyuma lw'okukukungulwa nga teyononese.
Ekkobe lirimu ebika bibiri; waliwo eddene eriyitibwa Nakatudde
n'akatono akayitibwa Nakakaawa. Abagalya bagamba nti Nakakaawa
likaawa ng'erinnya lyalyo. Naye nga mu kweddira tewali njawulo
nti nze neddira Nakatudde oba Nakakaawa.
Okwebaza
Twebaza
abantu bangi nnyo nnyo abatusobozesezza okukola omulimu guno.
Mubangi tunokoddeyo Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba,
Omutaka Kyana James Magala Muteweta n'omuzukkulu Dr. Victor
Nsereko Wantaate bebazibwa kyansusso.
Bwoba
olina ky'obuuza oba okwongerako biyise mu
kkobeweb@yahoo.com
|