Ekika ky'Abekkobe kirimu amasiga ag'ennono mwenda era ge gano wammanga
Waliwo n'olunyiriri lw'akasolya mu kika ky'Abekkobe olukulemberwa Omutaka Kyana e Ttiribogo luno nga lusibuka Buzimwa mu Mawokota. Luno lwe luvaamu abalya Obwannamwama. Olunyiriri luno (lyandibadde ssiga mu ngeri ya bulijjo) lwe luyitibwa olw'abalangira mu Bekkobe era lwo lwetuukira butereevu ku Namwama omukulu w'ekika. Lulimu emituba emirangira gino wammanga: