Obuvunanyizibwa mu Bwakabaka

Egimu ku mirimo Abekkobe gye bakola mu Bwakabaka

Okutunga Engoye za Matikkira

Ow'essiga Kakinda - Omukugu mu by’emikono

Coronation Garment Creation

Ow'essiga Kakinda, y'akinda olubugo olusumikibwa Omulangira ng'alya Obuganda (Obwakabaka).

Emirimu gy'Obuyiiya:
  • Atunga engoye z’okutikkira Kabaka
  • Afaayo ku nnyambala entuufu ey’emikolo gy'Amatikkira
  • Akuuma obulombolombo bw'Amatikkira

Emikolo gy'okuziika abalangira mu bwakabaka

Ow'essiga Lwabiriza ow'e Katoolingo - Abeerawo

Royal Burial Rituals

Ow'essiga Lwabiriza e Katoolingo y'abanga entaana z'abalangira era yeyaggyanga akaba ku njole ya Ssekabaka

Omukolo gw'okuleeta Lubaale Mukasa

Omutaka Nnamwama abeerawo

Mukasa Fetching Ceremony

Omutaka Nnamwama yeyagobereranga Lubaale Mukasa e Ssesse ng'atumiddwa Kabaka

Okuwanga Amafumu mu Bwakabaka

Royal Spear Maintenance

Abekkobe bebawanga amafumu ga kabaka mu nnyago era bayiyibwa bawanzi okuva mu mutuba gwa Muwanzi

Oku sanyusa kw'Obwakabaka

Ow'essiga Wanda - Omufuuyi w'ekkondeere

Royal Musical Performance

Wanda y'afuuyira Kabaka ekkondeere eriyitibwa Mwokoola alifuuyira wamu ne Makanga Oweemmamba nga ye afuuwa erirye eriyitibwa Kawunde.

Okuyigga

Owesigga Namukangula - Omuyizzi w’Obwakabaka Omukulu

Royal Hunting Corps

Abekkobe bebamu ku bayizzi ba Kabaka okuyita muw'Essiga Namukangula.

Omukolo gw'okuggulawo oluguudo ku Matikkira

Omutaka Kutulako

7

Omutaka Kutulako yaggulira Omulangira ekkubo e Kasenge nga agenda e Naggalabi okitikkirwa.

Ebifananyi

Mukasa Fetching Ceremony
Royal Burial Rites
Spear Crafting
Musical Performance
Bark-cloth Making
Royal Hunting
Amakulu g’Obuwangwa

Obuvunaanyizibwa buno obwekitiibwa bukiikirira ebyasa n'ebyasa mu nnono, okugatta ekika ky’e Kkobe ku mutima gwennyini ogwa Buganda emikolo gya Buganda egy'Obwakabaka n'enkola z'obuwangwa.

Abakulembeze Abakulu
Omutaka Nnamwama Lubaale Mukasa
Ow'essiga Lwabiriza Okuziika abalangira
Abawanzi Amafumu ga Kabaka
Ow'essiga Wanda Ekkondeere Mwokoola
Ow'essiga Kakinda Okukinda
Owesigga Namukangula Omuyizzi Omukulu
Omutaka Kutulako Omukuumi w’Ekkubo