Olugero Lwe Kkobe
Mu binyumizibwa n'ebiwandiikiddwa kigambibwa nti, Olwali olwo jjajjafe Nsereko Kalamazi ne yegatta ku Ssekabaka Kintu (1200-1230) batabaale Bemba, bajja batambula okuva e Buvanjuba bwa Uganda mu kitundu ekyali kiyitibwa "Ggwe"
Ekyavaako okweddira Ekkobe
Mu kiseera kino ye Samia Bugwe, baabo mu Bugisu gye yasanga omuwala gwe yegomba n'ayagala amuwase. Ekiseera kyatuuka jjajjafe Nsereko ne banne ne bagenda okweyanjula ku buko. Baba batudde ku maliba nga babagabula ebittafuttafu wansi w'omuti, ekkobe ne liva waggulu ne limukuba mu kiwalaata n'awanamira ku lujjuliro n'ayisibwa bubi nnyo anti lyamuleetera okuswala! Bwatyo kwe kugamba nti, okuva leero abaana bange n'abazzukulu tewabanga alya ekkobe. N'okuva olwo, ekkobe nerizirwa era ne rifuuka Omuziro.
Kigambibwa nti, omuwala gwe yali ayogereza yali ayitibwa Namboozo oluvannyuma eyafuuka Nambooze. Namboozo bwe yazaala omwana omulenzi, Nsereko n'amutuuma Male ekitegeeza nti, "amakobe tugamale okugalya." Omwana owookubiri n'amutuuma Busuulwa nti, "amakobe tugasuule." Ate owookusatu yatuumibwa Ssebuliba, nga yejjukanya amaliba kweyali atudde ekkobe limale limukube. Omwana omulala yamutuuma Nambooze okumubbula mu mukazi Namboozo gwe yali agenze okwogereza.
Jjajjafe ono Nsereko nga bali ne Kabaka Kintu oluvannyuma
lw'okutta Kabaka Bemba Musota eyali aliisa Abaganda
akakanja, yasooka kusenga ku mutala gwe bayita Kanyanya mu
Busujju okuliraana Magonga. Oluvanyuma yasaba mukama we
Kintu n'amuwa ku mutala Buzimwa okwali baganda be Gubiri,
Kakulukuku ne Nalugunju abaali bafugibwa Omunyolo Kasamu
Nayiko gwe yagobako. Eyo y'emu kunsonga eyamusabya omutala
Buzimwa oluvannyuma kwe yasinziira okulumba era n'atabaala
Abanyolo abalala abaali mu bitundu ebiriraanye Teketwe kati
Buwama mu Mawokota.
Kigambibwa nti, Nsereko yali mujagujagu mu kkubo lyabwe nga
badda okuva e Buvanjuba nga bayitidde e Ssese, era nti ku
Ssekabaka Kintu ye yasookanga okuddamu buli kintu
ekyabuuzibwanga. Noolw'ekyo ekigambo mu Lussese
"KWAMA" ekitegeeza okusooka oba kwaniriza
kyamubatizibwa, bwatyo Nsereko olw'obwangu bwe yalina mu
buli kintu ne bamuyita "Namuyama" oluvannyuma
n'afuuka Nnamwama. Nsereko ono era yaweebwa omulimo
gw'okunonanga ku Lubaale Mukasa e Ssese. Kabaka yamubuuzanga
nti omugenyi wamuyama? Nti yee Ssebo, "omugenyi
namuyama (namwaniriza)." Era Namuyama - Nnamwama kwe
kwava n'erinnya ly'ekifo Buwama awali embuga y'Abekkobe