Ensi Buganda mu Masooka
Nazzi kuno, ensi Buganda yali eteredde ntende ; ng'emaze okuva mu bwa Muwawa n'efuuka ekiganda ky'Obuganda obussa ekimu. Ekimu ku byatebenkeza ensi eno yali ngabana ya buyinza wakati w' Engoma n'abakulu b'ebika. Ku ntikko yabangayo Kabaka alina obuyinza obw'enkomeredde, n'ayambibwako abaami mu bufuzi bw'ebitundu, ate bwo obukulembeze mu buwangwa ne buba bwa bakulu ba bika. Awo nno Buganda n'eba n'obutebenkevu obw'omunda kuba tewaabanga kutabaalangana mu bika ne mu masaza.
Okujja kw'Abeeru Ku ntandikwa y'ekyasa eky'ekkumi n'omwenda (1800 AD), abagwira, omuli Abawalabu n'Abaswayiri abalungaana kko n'Abazungu, baali bamaze okuwulira ku ttutumu lya Buganda era ne baagala nnyo okukyalira Kabaka..