Ensi Buganda mu Masooka
Nazzi kuno, ensi Buganda yali eteredde ntende ; ng'emaze okuva mu bwa Muwawa n'efuuka ekiganda ky'Obuganda obussa ekimu. Ekimu ku byatebenkeza ensi eno yali ngabana ya buyinza wakati w' Engoma n'abakulu b'ebika. Ku ntikko yabangayo Kabaka alina obuyinza obw'enkomeredde, n'ayambibwako abaami mu bufuzi bw'ebitundu, ate bwo obukulembeze mu buwangwa ne buba bwa bakulu ba bika. Awo nno Buganda n'eba n'obutebenkevu obw'omunda kuba tewaabanga kutabaalangana mu bika ne mu masaza.
We twogerera nga ebika bya Buganda bisukka mw'ataano mw'ebina (54): omukaaga (6) binnansangwa (Effumbe, Olugave, Enjaza, Enyonyi, Engonge n'Emmamba Nankere) ; ekkumi n'ebisatu (13) ebyajja ne Kabaka Kato Kintu ; ebitaano (5) ebyatondebwawo Kabaka Chwa Nabakka 1 ; abiri mw'omunaana (28) ebyajja ne Ssekabaka Kimera ng'ava e Bunyoro ajje alye Obuganda ; kko n'ebibiri (2), oba n'okusingawo, ebyatongezebwa oba ebijja bitongozebwa nga biva mu bika ebigazi ebibaamu obusolya obusukka mu kamu nga bwawula obutaka. Eby'okulabirako ky'Ekika ky'Engabi ekirimu Ensamba n'Enyunga ne eky'Omutima omuli Omusagi n'Omuyanja. Wandibaayo ebika by'Abaganda ebirala ebyazaawa mu kuwanganguka oba okwekweka, ebikyayinza okuzuuka. Bagamba nti mu Buganda mwalimu Ekika ky'Embuzi. Ekika ky'Ekkobe kibalibwa mu byajja ne Kabaka Kato Kintu, oba ebyatandika ku mirembe gye, mu kyasa eky'ekkumi n'ebina (1300 AD).
Enkolagana ya Buganda n'ensi ezigyetoolodde oluusi yabanga ya mirembe ate olundi n'eba ya mbiranye. Anti olumu waabangawo kusuubula na kuwaanyisiganya bya maguzi na magezi mu ddembe, ate olulala ensi zino ez'omuliraano ne ziba mu ntabaalo nga buli emu enoonya kwegaziya na kwenyagira bya bugagga. Entalo za Buganda ne Bunyoro muzimanyi bulungi, era mujjukira okusensera kwa Buganda mu Busoga n'e Kiziba, Abazungu we baatuukira kuno.
Okujja kw'Abeeru
Ku ntandikwa y'ekyasa eky'ekkumi n'omwenda (1800 AD), abagwira, omuli Abawalabu n'Abaswayiri abalungaana kko n'Abazungu, baali bamaze okuwulira ku ttutumu lya Buganda era ne baagala nnyo okukyalira Kabaka..
1844
Omuwalabu Ahmad Bin Ibrahim yakyalako ewa Ssekabaka Ssuuna II Kyetutumula (1824-1856) n'ayogera ku nzikiriza y'Ekiyisiraamu yadde nga yali azze kusuubula.
1862
Kabaka yakyalirwa Omuzungu omubereberye, John H. Speke, ng'ono yajja nga mulambuzi. Era omulambuzi Omuzungu omulala, ng'ate musomesa wa ddiini
1875
Henry Stanley, ng'amaze okuyitako mu lubiri lwa Ssekabaka Muteesa I Mukaabya Walugembe (1856-1884) e Mengo mu 1875, abaminsani Abangereza aba Church Missionary Society (CMS) baayitibwa baleete Obupolotesitanti mu Buganda.
1877-1879
Bano baatuuka mu Buganda mu 1877, ate mu 1879 abaminsani aba White Fathers Abafaransa ne baayingira mu Buganda okusomesa Obukatuliki. Ku nkomerero y'ekyasa, Obuganda bwali busoma enzikiriza za njawulo : ey'Ekiyisiraamu, ey'Ekikulisitaayo, ey'Ekikirisitu, ne ey'ennono eyasangibwawo.
Entalo z'Eddiini
Embeera ey'enzikiriza engenyi ezaaleetebwa abantu abatakwatagana ; Abawalabu n'Abaswayiri, Abangereza n'Abafaransa, yaleeta obutabanguko mu gwanga. Byasookera mu kuwakana ku ddiini mu lubiri lwa Kabaka ne mu mbuga z'abaami, nga buli kibinja kigamba nti kye kireese enzikiriza entuufu omulina okuyitwa okutegeera Omutonzi, era nga kyagala kibe nga kye kiganzi e Mbuga. Bwe byeyongerayo buli kibinja kya ddiiini ne kifuna abagoberezi bannansi. Bano ne basooka baawukana mu nsinza empya, ate oluvannyuma ne baawukana ne mu by'ensi, ng'enfuna, enfuga n'enneeyisa. Ekyavaamu kwali kulwana ntalo za ddiini ezadoboonkanya ennyo Abaganda n'ebika byabwe okumala emyaka nga kkumi.
Ebyatukawo Oluvanyuma Lwe Enjawukana ku Engoma ya Buganda
- Ssekabaka Muteesa I: yakisiza omukono ng'asomye ku Buyisiraamu n'Obukulisitaayo
- Ssekabaka Mwanga II Basammula (1884-1897): yasoma ku Bukatuliki n'Obukulisitaayo naye naasinga kwekubira ku nzikiriza ya nnono za bajajjaabe.
- Kiweewa Mutebi: ku Nnamulondo teyalwako, mu bimuvunaanibwa mwalimu okugaana okutayirirwa
- Nuhu Kalema: ng'akirizza okusoma Obusiraamu n'okutayirirwa. Yafugira mu ntalo
Enjawukana zino zatuuka n'okutabangula Engoma ya Buganda.
Ssekabaka Muteesa I we yakisiza omukono ng'asomye ku
Buyisiraamu n'Obukulisitaayo ; Ssekabaka Mwanga II Basammula
(1884-1897) yasoma ku Bukatuliki n'Obukulisitaayo naye
naasinga kwekubira ku nzikiriza ya nnono za bajajjaabe.
Mwanga II yakyawagana n'abasomi bonna, era ebiwayi byabwe
ebisatu byassa kimu n'agobwa ku Bwakabaka nga 10/10/1888.
Mukulu we Kiweewa Mutebi yatuuzibwa ku Nnamulondo nga Mwanga
II ali mu buwanganguse e Bukumbi, mu bukiika-ddyo ng'osomose
Nalubaale, mu mikono gy'Abakatuliki. Oluvannyuma yadda ku
kizinga Bulingugwe, n'Abapolotesitanti gyebamwegattirako,
bonna ne bamuyamba okusiguukulula Abasiraamu abaali
bamaamidde ekibuga kye. Obuyinza yabweddiza mu Okitobba wa
1889, omulundi ogwasooka, ne mu Janwari wa 1890,
ogw'okubiri. Kiweewa ku Nnamulondo teyalwako; mu
bimuvunaanibwa mwalimu okugaana okutayirirwa, era Abasiraamu
abaalina obuyinza baamujjako ne bassaako Nuhu Kalema nga
22/10/1888, ng'akirizza okusoma Obusiraamu n'okutayirirwa.
Yafugira mu ntalo, era yamaamulwako kko mu Okitobba wa 1889,
ate naddamu okuwamba mu Nnovemba w'omwaka ogwo, wabula
Abapolotesitante n'Abakatuliki ne bamugobera ddala mu
Janwari wa 1890. Yafa kawaali ng'alwana okuva e Kijungute
gye yali addukidde ne basajja be. Mwanga II naye yalwa
ddaaki n'akyawagana n'Abazungu, yakkaanya ne Nnamasole
bajeemere obufuzi bw'amatwale, era yafiira mu buwanganguse
ku kizinga Seychelles ekisangibwa mu Liyanja Buyindi.
Yasikizibwa omwana we ow'omwaka ogumu, Ssekabaka Chwa II
Bukaajumbe Daudi, nga 14/08/1897
Okukyama ky'olunyiriri lw'Akasolya k'Ekkobe
Mu Kika ky'Ekkobe mwakabaamu Bannamwama amakumi ana (40), okuva ku Namwama Nsereko Kalamazi eyawangaalira ku mintu okutuuka ku Namwama Augustine Kizito Mutumba aliko kati.
Abasembayo ekkumi n'abataano(15) be bano nga bwe baddiringana
- 26. Nanyumba(azaala Kavavagalo)
- 27. Kavavagalo (azaala Kyewaalabye Omuzira)
- 28. Nakatanza
- 29. Kasaala (Nsowole)
- 30. Muwakanya (mwana wa Kavavagalo)
- 31. Kitemagwa (mwana wa Nakatanza)
- 32. Kabizzi (mwana wa Musajjakkaawa)
- 33. Sematimba (mwana wa Kitemagwa)
- 34. Ibrahim Kironde (mwana wa Kitemagwa)
- 35. Zakaliya Musuuyi (Nsowole: mwana wa Kiregeya nga wa mu Ssiga Kauma)
- 36. Raphael Kauma (Nsowole: mwana wa Bakubanja, omuweereza wa Kabizzi)
- 37. Yozefu Byekwaso I (Nsowole: mwana wa Kauma R.)
- 38. Yozefu Byekwaso II (Nsowole mwana wa Byekwaso I)
- 39. Leonard Kiragga (Nsowole: mwana wa Byekwaso II)
- 40. Augustine Kizito Mutumba (mwana wa Mariko Male nga wa mu Mutuba gwa Muwakanya mu Lunyiriri lwa Kyana).
Kigambibwa nti Namwama Kabizzi yali mukadde nnyo mu biseera by'entalo z'eddiini, nga takyasobola kwanukula buli mulanga. Abamu ku baali bamuyambako ku gy'Ekika ye mwana wa musajja we Bakubanja, Raphael Kauma (1893-1934), era y'oyo eyaliwo mu kugabana obwami mu Mawokota nga liriiriddwa Abakatuliki, naalya Obwanamwama. Sematimba eyali adidde Kabizzi mu bigere ku Bwanamwama yali asomye Bupolotestanti, era embuga z'Abekkobe mu Mawokota yali takyazirinako buyinza, emirimu yagitambulizaako Magere, Kyaddondo. Ibrahim Kironde II yali Musiraamu, era bagamba nti entebe yagituulako mu mirembe gya Kiweewa Mutebi ne Nuhu Kalema egitabandaala. Ate Zakariya Musuuyi eyali ava mu Ssiga lya Kauma e Wassozi naye yalyako ku Bwanamwama okumala akabanga katono mu biseera by'entalo z'eddiini. Mu biseera ebyo Banamwama baasoba mw'omu. Ebyafaayo by'Akasolya k'Ekika mu myaka asatu egisembayo mu kyasa ky'ekkumi n'omwenda (1800) bisaana okwongera okunoonyerezebwako.
Abakulu mu Kika ky'Ekkobe batera okumenya erinnya "Tanani" buli lwe baba boogera ku ntandikwa y'ensowole mu Kika. Omuntu ono Mungereza munnamagye ng'amannya ge mu bujjuvu ye Major Trevor Ternan, nga yatuuka mu Uganda mu mwaka gwa 1895 akole nga "Acting Commissioner" era nga ye muduumizi w' eggye "Uganda Rifles". Ye yali awaniridde obufuzi bw'Abangereza, Mwanga II weyawangagusibwa. Ye yaduumira entalo z'okuwondera Mwanga II mu Buddu nga yeediimye, okutuusiza ddala lwe yagombwamu obwala mu Lango nga yeegasse n'Omukama Kaabaleega, Kabaka wa Bunyoro, okulwanyisa obufuzi bw'amatwale. Waliwo olutabaalo olw'e Kabwoko (soma Kaabuwoko) olwogerwako ennyo mu byafaayo by'okusiguukulula Mwanga II n'abawagizi be mu Buddu. Lwaliwo mu Jjulaayi 1897. Era nga luwedde Major Ternan yakakasa abawagizi b'Abangereza bangi ku bwami bwe baali baakafuna. Kino naye akyogerako mu kitabo kye . Ob'olyawo nga Kauma R. lwe yayongerwa okukakasibwa ku Bwanamwama kuba abakulu mu biwandiiko byabwe ne mu mboozi bajuliza nnyo omwaka 1897 mu kkajjala kw'ensowole mu Kika. Major Ternan yabbulwamu oluguudo mu Kampala, era e Kenya waliyo ekifo ekiyitibwa Fort Ternan.
Emisango gy'Akasolya mu Kika ky'Ekkobe
Bwe butyo obukulembeze bw'Ekika ky'Ekkobe ne buva mu Lunyiriri lwa Kyana omuva abalya Obwanamwama ne budda mu basibuka mu masiga; ng'ate mu kika kino tebavaamu wa Kasolya, ono nno ng'assibwako nga tuyita mu kulonda ne mu nsikirano. Kauma R. n'abazze bamusikira ku Bwanamwama kimanyiddwa nti bava mu Ssiga lya Namukangula e Bbongole, Mawokota.
Ekika ky'Ekkobe kirimu amasiga mwenda
- Namukangula e Bbongole (Mawokota)
- Kayiwa e Buyiwa (Mawokota)
- Busuulwa e Nkozi (Mawokota)
- Kauma e Wassozi (Mawokota)
- Lwabiriza e Katoolingo (Busiro)
- Wanda e Misindye (Mawokota)
- Kakinda e Jjalamba (Mawokota)
- Kabengwa e Bulumbu (Busiro)
- Kaseenya e Buseenya (Butambala)
Buli ssiga lirina obutaka, era Obwessiga butwalibwa muntu ava mu "lunnyiriri olulangira" mu Mutuba, mw'egyo egikola Essiga, ogumanyiddwa nti mwe muva abalya obukulu bw'Essiga. Obwessiga, okufaananako n'Obwanamwama, bugatta okulonda n'ensikirano. Kwe ggamba nti omukulu mu kika tasikirwa mwana we yekka, wabula asikirwa mwana we oba omuntu omulala ow'olulyo lwe, oluvannyuma lw'okwebuuza ku b'ensonga mu kika n'okuteekateeka okulonda okwambulukufu. Obukulu bw'ekika butera kuba bwa kutuusa kufa, wabula omukulu w'ekika ayinza okufiirwa obukulu bwe singa wabaawo ekimulemesa mu mbeera ze ez'obuntu, singa asalawo okubijjamu enta kyeyagalire oba bw'agwa mu kivve. Obwanamwama buliibwa ba Lunyiriri lwa Kyana olulangira mu Kika ky'Ekkobe, olukolwa emituba emilangira. Era Namwama ayinza okuva mu mutuba gwonna omulangira kasita guba nga gwa Lunyiriri luno. Lwo Olunyiriri lwa Kyana lukulirwa "Kyana" nga ye "Ssabalangira" mu Kika, atuuza Namwama wabula nga talya Bwanamwama. Obutaka bwa Kyana buli Ttiribogo, Mawokota. Obukwakkulizo bw'okulonda Kyana bulinga obwo obugobererwa mu kunoonya anaalya Obwanamwama oba Obwessiga, era alondebwa baamituba gye milangira bokka.
Mu kusooka buli baayogeranga ku kukyama ky'obufuzi bw'Akasolya, baabagambanga nti baagala kuleeta kusosola Bakatuliki mu Kika. Era emu ku nju ezalemererwa okubanja obukulu obwo ye ya Namwama Kabizzi, eyavaamu abaaweereza ennyo Namirembe, ng'omugenzi Bishop Misaeri Kauma. Emyaka okuyita emingi ng'Akasolya kali mu nsowole kyaleetera n'obukulu bw'amasiga okukyama. Essiga lya Kauma e Wassozi, lyatuuka n'okufugibwa abava mu Kayiwa e Buyiwa. Abatuufu okulya Obwakauma baagobwa ku Wassozi, kuba ali mu Mawokota, Essaza Ekkatuliki, ate oluvannyuma ng'ensi eteredde bakkirizibwa kubaako na nsuku, naye nga tebadidde ddala kweddiza butaka bwa Ssiga, kuba baali basiramuse. Okuva mu myaka gy'ana, emisango gy'Akasolya k'Ekkobe gyatandika okuwaabwa mu kkooti za Buganda ez'oku ntikko era egisinga kugyo ne gisalwa mu bwenkanya.
Omusango No. 3/50 (1950)
Awaabira: Y.K. Kauma ne banne ku lwa Kyana (Tomasi Kaddu Nankalunguse)
Awawaabira: Nnamwama Yozefu Byekwaso I (1934-1958) okumenyawo Olunyiriri lw'Akasolya n'okugamba nti obufuzi bw'Ekika obw'oku ntikko bwa Ssiga lya Namukangula. Mu nsala ye, Ssekabaka Muteesa II yakakasa okubaawo kw'olunyiriri olulangira mu Kika ky'Ekkobe omuva abalya Obwanamwama.
Ensala eno eya nga (28/06/1950): yafulumira mu Akiika Embuga owa nga 15/09/1950 ne Gambuze owa nga 16/02/1951. Waaliwo n'ebbaluwa ya Ssekabaka Muteesa II eya nga 20/05/1952, No. 44/c/II, ekakasa obukulu bwa Kyana ku nsonga z'okulonda n'okutuuza Namwama, eno eri mu Akiika Embuga owa nga 30/09/1952.
Omusango No. 2/59 (1959)
Ensonga: oludda lwa Kyana lwawawaabira Namwama ne banne okugaana Namwama eyali alondeddwa Kyana okutuuzibwa ku ntebe akole emirimu gy'Ekika.
Ensala: Ensala ya Ssekabaka Muteesa
II eyafulumira mu Akiika Embuga owa nga
17/08/1959/Vol.12 No.75, yalagira Byekwaso II
(1958-1961) ave ku bukulu bw'Ekika, ne Kyana akunge
ab'amasiga balonde Namwama omutuufu mu nnono za
Buganda
Okuva awo ebintu bingi ebyabaawo mu Uganda ne bigaana
n'Abaganda okugoberera obulungi ensonga z'ebika
byabwe.
Mu 1962, gaali meefuga, mu 1964 agamu ku masaza ga
Buganda ne galugenda nga gazzibwa ku Bunyoro, mu 1966,
Ssabaminisita Apolo Milton Obote n'agoba Muteesa II ku
Bwakabaka, ne yeddiza obuyinza era n'awera n'obufuzi
obw'ensikirano mu Uganda. Obwakabaka n'obukulembeze
obw'ennono z'Ekiddugavu mu Uganda bwazzibwawo
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu 1993, wabula nga
kuliko akakwakkulizo k'obuteetaba mu byabufuzi byawula
mu bantu, nga bwe kirambikwa mu Ssekamateeka wa Uganda
owa 1995, Essuula 16, Akawaayiro 246.
Kano akalembereza akaaleetebwa omulembe gwa National
Resistance Movement, akaganyizza Obwakabaka bwa
Buganda n'ebika bya Baganda okuddamu okwezimba
n'okwetereeza, katuukibwako nga tumaze kuyita mu
mirembe egiwerako egy'obutabanguko omwali enfuga ya
Idi Amin Dada ey'ekinnamagye (1971-1979) n'okudda
kw'Obote ku bufuzi omulundi ogw'okubiri (1980-1985).
Omusango KD 08/98 (2001)
Ensonga: Namwama Leonard Kiragga (1961-2001/2008) yawawaabira Mw. Charles Kayongo olw'okyeyita Namwama n'okutuula mu nkiiko z'abataka ba Buganda e Mengo. Kayongo C., ng'ava mu Lunyiriri lwa Kyana, eyafa nga 14/08/2010,yali aweereddwa obuyinza okuba Namwama oweekiseera.
Ensala (26/09/2001):Ekkooti ya
Ssabasajja Mutebi II Muwenda Ronald, ey'Eddiiro lya
Kisekwa, yajuliza ensala ezasooka, n'esaba Kyana
atuule n'Abaamasiga kko n'Abeemituba Emirangira
egy'Olunyiriri lwe, balonde Namwama omutuufu.
Jajja Kyana, James Magala Muteeweta, yakola nga bwe
yalagirwa, era n'ayanjulira Obulange Namwama omuggya,
Augustine Kizito Mutumba, mu bbaluwa ye eya nga
22/11/2001, eyaddibwamu Kisekwa nga 19/12/2001,
ng'ayagaliza Namwama omulonde, obuweereza obulungi.
Obufuzi Bw'Ekika
Okuva mu 2001, Namwama Mutumba K. A. abadde aweereza
Ekika, mu kulungamya Abekkobe bonna n'okubalaga empenda
omuyitwa okwekulaakulanya, ng'azinziira mu woofeesi
y'Ekika e Nakulabye, Kyaddondo. Olukiiko lwe luludde nga
lwemulugunya n'okujjukiza Obuganda nti Kiragga L. yali
yewangamizza ku Bwanamwama, okutuusa lwafudde nga 05/04/
2008 (laba Bukedde 07/04/2008 ne 07/05/2008), olumbe lwe
ne lwaba nga 16/05/2009 (laba Bukedde 18/05/2009), era
n'asikirwa mutabani we Joseph Nsereko Byekwaso III, abamu
gwe bakyayita Namwama mu bukyamu (laba Bukedde 21/05/2009
ne 29/05/2009).
Nga 30/08/2009, Namwama Mutumba K. A. yatuuzibwa ku ntebe
ya bajajjaabe ku lusozi Buzimwa, mu Mawakota, awali
obutaka bw'Ekika ky'Ekkobe obukulu, era omugenyi omukulu
ku mukolo ogwo yali Oweekitiibwa Haji Yusuf Nsubuga
Nsambu, Omubeezi wa Katikkiro avunaanyizibwa ku buwangwa
n'ennono, ku lw'Obwakabaka bwa Buganda.
Isaac Ssettuba
Omuwandiisi w'Ekika ky'Ekkobe
Ilsett7@yahoo.com | (256) 772 478371Nga 29/12/2010 e Kaabyuma, Buweekula (Byekenyezebwa)